close
FEATUREDNEWS

Ye Waffe! Ab’e Buvuma Beewera Kuzzaayo Mubaka Waabwe Migadde Mu Palamenti!

By Juma Nsubuga 

Nga okulonda muggwanga okwa 2026 kubindabinda, abalonzi mudisitulikiti y’e Buvuma beewera kuzza mubaka waabwe Robert Ndugwa Migadde mu palamenti ekisanja ekilala.

Buvuma disitulikiti esangibwa mubizinga by’e Buvuma kunnyanja Nalubaale. Eyawukana ne Jinja mumambuka era n’eyawukana ne Mayuge mubuvanjuba.

Buvuma district erina abalonzi abasoba mu Mitwaalo 89890.

Okusinziira baagala Migadde akomewo mu palamenti olw’obuweerezaabwe bwebagamba nti bubadde nga omubissi gw’enjuki okuwoomelera.

Migadde yakamala ebisanja bisatu mu Parliament naye abatuuze bamativu n’obuweereza bwe.

 Abatuuze bagamba nti okuva Migadde bweyayingira palamenti ebyenjigiriza byeyongerako wadde nga bikyabulamu kubanga ebizinga ebimu tebirina masomero. 

Eyali ssentebe w’e ggombolola y’e Busamuzi, Charles Aisu agamba nti obukulembeze bwa Migadde bubayambye nnyo okukyuusa ekitundu ky’e Buvuma. 

“Mu palamenti ateesa ate ne bwe gutuuka kunsonga endala adduukirira abantu. Asakidde disitulikiti yaffe ebintu bingi, omuli amasomero, enguundo, amalwaaliro nebirala” Aisu bwategezeezza.

Ayongeddeko nti Mugadde bweyajjira Buvuma yalina esomero lya Gavumenti erya siniya limu erya Buvuma College ate nga temuli basomesa. Naye Migadde esobodde okusakira ekitundu kati balina amasomero 4. 

Ye Kasim Isabirye nganaye kutuuze w’e Buvuma agamba nti basanyufu n’obuweereza bwa Migadde naddala okukola kuby’obulamu mukitundu kyaabwe.

“Wadde nga bikyabulamu naye afubye nnyo ng’abwasobola okuzimba amalwaliro ng’akozesa sente ze nga omuntu” bweyagambye. 

Ye Omubaka Migadde yategeezezza nti ebizibu bingi ebiruma abantu mu bizinga era ye ne banne bazze babikolako mpolampola. 

Migadde agamba nti embeera esingira ddala okutawanya abantu be bw’e bwaavu obukudde ejjembe. 

“Abantu abaali abagagga nga bafuna ssente mu kuvuba, obulamu bwaabwe bwadobonkana kubanga okuvuba tekukyasoboka kubanga ennyanja Gavumenti yajissaako abajaasi nebabasaako amanyi maangi” bweyagambye.

Migadde agamba nti ebbanga Gavumenti ly’etadde abaasirikale ku nnyanja, begaggawazza bokka tebalina kye bayambye bavubi era n’asaba Gavumenti ekkirize abavubi batambulire wamu n’amagye agakuuma ennyanja kuba ebbanga lye bamaze mu mbeera embi bayize.

Ku by’obulamu Migadde agamba nti mu 2018, yategeeza palamenti embeera embi gye baalimu mu bizinga era sipiika n’alagira minisita omubeezi ow’ebyobulamu, Sarah Opendi okulambula amalwaliro era n’asumusa amalwaliro okuli, Lukale, Nkata, Lwaje, Lubya ne Buwooya okutuuka ku mutendera gwa Health centre 3.

Migadde naye nga omuntu asobodde okuzimba amalwaliro ga Health Centre 2 abiri okuli Lukale ne Kirewe. Yagula ne ambyulensi okusobola okutambuza abalwadde.

” Ng’omuntu nnyambye ebibiina n’abantu ssekinnoomu okufuna looni za bodaboda wadde ng’abasinga bwebamala okuzifuna tebagala kusasula” Migadde bweyategezezza era n’agattako nti,

“Nyambyeko okutumbula ebitone naddala Essaza ly’e Buvuma  okwetaba mumasaza ga Buganda.

Wadde nga abalonzi bamalirivu okuzza Migadde mu palamenti, waliwo abaagala okumusuuza ekifo kino okuli Ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma  Adrian Wasswa Ddungu n’abalala naye Migadde akyalina enkizo.

Leave a Response