Bya Juma Nsubuga
Eyali Omubaka wa palamenti owa disitulikiti y’e Kabale, Ninsiima Ronah Rita asabye gavumenti eyongere amaanyi muntekateeka zaayo ez’okulakulanya banna Uganda naddala nga eya Parish Development Model (PDM), Emyooga n’endala.

Ninsiima okwogera bino asinzidde ku kabaga akaggalawo omwaka aka ‘Together is One Saving Group e Lugala Masananafu mu Ggombolola ye Rubaga mu Kampala.
Ninsiima nga atuula ne ku board ya Uganda Retirement Benefits Regulatory Authority (URBRA) agamba nti banna Uganda bantu banyiikivu mukukola emirimu ej’enjawulo naye tebalina nsimbi zitandika awo mirimu. Asabye govumenti eyongeremu amaanyi okuyamba abantu ng’ebawa ensimbi ezitali zakwewola basobole okwekulakulanya.
Nansima nga ye Ssetebbe wa Together is One Saving group agamba nti bammemba banyiikivu mukuteterekawo akasente (Saving) wadde nga tebalina ssente eziwera (Capital) okwongera mu bizinensi zaabwe.
Ekibiina kino kijaguzza olwokumalako omwaaka era n’okuweza emyaaka 8 ngabatambula.
Wano wayongedde n’akunga abantu abawangaalira mubitundu bye Nankulabye, Kasubi, Masanafu, Lugala n’ebirala ebyetoloddewo okwettanira ekibiina kino basobole okukulaakulana.
Agenze mumaaso n’asaba banna Uganda naddala abavubuka okuterekera obukadde bwaabwe.
Mungeri yeemu Omumyuka we Godfrey Matovu akubirizza bannakibiina kya Together is One Saving Group okwanguyanga okukomyaawo ssente ezibawoleddwa kisobozese ekibiina okuwola neba mmemba abalala abalina obwetaavu.








