close
FEATUREDNEWS

Ssekukkulu! Ssaabaminista Robinah Nabbanja Akunze Bannauganda Kukusomesa Abaana! Abyogeredde Mukusaba Mmisa Y’amazaalibwa Ga Kkurisito E Kakumiro!

PM Nabbanja ng'ali mukkeleziya okujaguza amazaalibwa ga Kkurisito

Bya Juma Nsubuga 

Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja mububaka bwe obw’amazaalibwa n’omwaka omugya, asabye bannauganda okulaba nga abaana basigala mu masomero nga basoma.

Bino abyogeredde mu kusaba mmisa ya ssekukkulu j’akwatidde ku Kigo kya St. Andrea Kaahwa mu disitulikiti ye Kakumiro.

Ssekukkulu y’omwaka guno 2024 kigambibwa lwegiweze emyaka 2025 bukyanga mwana Yezu Kristu azaalibwa e Bethrehem mukisibo ky’ente.

Bwanamukulu w’ekigo kya St. Andrea Kaahwa Rev. Fr. Joachim Mugisa y’akulembedemu ekitambiro kya mmisa.

Nabbanja asinzidde wano n’asaba bannauganda okulaba omwaka ogujja nga bakola butaweera abaana obutava mu masomero.

Nabbanja era akunze banauganda okukuuma emirembe nga bajaguza.

Abakristu nga bayita mũ bwana mukulu waabwe, bayozayozezza Ssaabaminisita okugonnomolwaako ekirabo ekyomukyala asinze okuba omukozi kussemazinga wa Africa nemunsi yonna.

Bano era beebaziza omukulembeze w’eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni olw’enkulakulana gy’atadde mubitundu by’e Bunyoro.

Leave a Response